Gavumenti eyimirizza enzirukanya y’emirimu mu omukago gw’ebitongole ebirondoola eby’okulonda mu ggwanga ogwa National Election Watch Uganda, ekimanyiddwa nga NEW UGANDA.
Omukago guno nga gubadde gugatta ebitongole byobwanakyeewa 65, gwatongozebwa nga 10/9/2020 mu Kampala, gavumenti nga eyita mu kitongole ekirungamya ebitongole by’Obwanakyeewa egambye nti omukago guno teguliiwo mu mateeka, kubanga teguwebwanga lukusa kukolera mu Uganda.
Kizuuliddwa nti omukago guno tegulina lukusa kulondoola binaaba mu kalulu akabindabinda omwaaka ogugya, era tegumanyiddwa kakiiko kabyakulonda mu mateeka.
Mungeri yeemu kikakasiddwa nti ebitongole 42 kweebyo 65 ebyawandiisibwa byebiri mu mateeka , songa ebitongole 6 kweebyo byonna tebikyaalina layisinsi ebikkiriza kukolera mu Uganda.
Ayogerera ekitongole ekirondoola ebitongole byobwanakyeewa mu Uganda Patrick Ezaga asinzidde ku Media Centre mu Kampala, nagamba nti kino kikoleddwa okweewala emivuyo egiyinza okubaawo singa ekitongole kino kikkirizibwa okukola, mungeri yeemu naalabula nti ebitongole byonna ebiri mu mukago guno mu bumenyi bw’amateeka byakukangavvulwa.
Ezaga wabula awakanyizza ebibadde bigambibwa nti ekiviiriddeko emirimu mu mukago guno okuyimirizibwa kwekuba nga erinnya lyaagwo lyefanaanyiriza engombo y’Omukulembeze w’ekibiina ki National Unity Platform NUP Robert Kyagulanyi Ssenyamu eya NEW UGANDA.
Kinajjukirwa gyebuvuddeko omukago guno gwakyoomera poliis n’amagye okulumba ekitebe kya NUP e Kamwokya negatwaala ebimu ku biwandiiko byekibiina kino.