President wékibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, Ssalongo Eng. Moses Magogo, akakasiza nti FUFA etandise okunonyereza ku mupiira ogwazanyibwa wakati wa club ya Kitara ne Express mu Uganda Premier League, okuzuula oba nga gwalimu okugulirira.
Omupiira guno gwazannyibwa nga 21 December,2024 e Hoima, era club ya Kitara yakuba Express mukwano gwabangi goolo 7-0.
Eng Moses Magogo agenze okwongera bino nga abawagizi ba Express abakulembedwamu ssentebe wabwe Julius Bakunda, yakamala okusaba FUFA okunoonyereza ku mupiira guno naddala ku bazannyi abamu aba Express.
Eng Moses Magogo agambye nti, akakiiko akanonyereza katandise omulimu gwako, kyokka nagumya bannauganda nti FUFA siyakuttira muntu ku liiso eri abo bonna abenyigira mu bikolwa ebyókugulirira mu mupiira.
Eng Moses Magogo era ayongedde kunsonga endala nyingi, nga muzo mwe mubadde nókukakasa bannauganda nti enteekateeka zonna eza Uganda okutegeka empaka za CHAN zitambula kinnawadda, nga empaka zino zigenda kutegekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania.
Empaka zino za CHAN zigenda kubeerawo okuva nga 01 okutuuka nga 28 February omwaka guno 2025, era amawanga 18 gegagenda okuvuganya mu mpaka zino.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe