Abaddukanya Fairland University e Jinja baddukidde mu kooti nebawawabira Ssaabawolereza wa government, nga balumiriza amagye ga UPDF okulemera ku ttaka lyabwe eriri ku Kimaka Plot M 149 mu Jinja City.
Sentebe ku kakiiko akafuzi aka Univeristy Dr. Solomon Wakabi asinzidde mu banamawulire mu kibuga Jinja nagamba nti baagula ettaka lino mu 2002 eriweza yiika kkumi, okuva ku kakiiko aka Jinja District Land board.
Wakabi agamba nti amagye gabalemesezza okukozesa ettaka lyabwe, nga n’ekitongole ekya Standard Gauge Railway kyali kyagala okubagulako ettaka lino, naye amagye negabalemesa.
Wabula omwogezi wa UPDF mu ggwanga Brig. Felix Kulaigye, abasekeredde agambye nti bamala biseera okugenda mi kooti nti kubanga ettaka University lyekaayanira ly’amagye, era tebagwanidde nakulyesembereza.
Bisakiddwa: Fred Kirabira