Okugugulana wakati wabamuliraanywa ababiri Rwanda ne Democratic Republic of Congo kwandiba ssi kwakukoma kati, ensisinkano ebadde etegekeddwa mu Angola mu kibuga Luanda ey’okugonjoola ensonga egudde butaka.
Abakulembeze ba Rwanda ne DRC ababadde balina okusisinkana okutema empenda zokugonjoola obutakaanya obwo, egudde butaka omukulembeze w’e Rwanda Retired Maj Gen Paulo Kagame talinyeeyo.
Ensisinkano eno yayitiddwa omukulembeze wa Angola Joa Lourenco nga yeemu kwezo ezizze zituula mu kibuga ekyo okugonjoola obutaakanya wakati w’amawanga gombiriri, obuva ku bubinja bwabayeekera buli ggwanga bwerirumiriza linaaryo okubuvujjirira.
Rwanda erumiriza government ya DRC okuvujjirira akabinja ka The Democratic Forces for the liberation of Rwanda, akajojobya government ya Rwanda.
Ne DRC erumiriza Rwanda okuvujjirira akabinja ka M23 egitigomya.
Ensisinkano etudde mu kibuga Luanda ekya Angola olwaleero yetabiddwamu omukulembeze wa Angola yennyini kagiyita Joa Lourenco, eyali omukulembeze wa Kenya Uhuru Kenya nga yakulira enteekateeka z’okutabaganya abagugulana saako omukulembeze wa DR Congo Felix Tshihekedi
Abakulu abo, bakanze kulinda omukulembeze wa Rwanda Paulo Kagame wabula talabiseeko, era ensisinkano etuuse kwabulukuka nga Kagame talabiseeko, nebasalawo okujoongezaayo ekiseera ekitali kigere.
Ministry ya Rwanda ey’ensonga z’amawanga amalala efulumizza ekiwandiiko, neegamba nti tewali kisobola kutuukibwako, nti ng’abakulembeze ba DR Congo buli olukya beeyongera okusosonkereza Rwanda.
Obubinja bwabayeekera obusoba mu 100, ebiwandiiko biraga nti bwebuli mu DR Congo naddala ekitundu lya Eastern Congo ewafumbekedde eby’obugagga ebyomuttaka.
DR Congo ezze erumiriza Rwanda nti ekozesa akabinja ka M23 nekigendererwa ekyokuwamba ekitundu kya Eastern DR Congo okubba ebyobugagga ebyomuttaka n’okukyeddiza, songa ne Rwanda eze erumiriza DRCongo okuvugirira akabinja ka The Democratic Forces for the liberation of Rwanda okumaamulao government ya Kagame. #