• Latest
  • Trending
  • All
Enteeseganya wakati wa Rwanda ne DRC zigudde butaka – president Kagame azeesambye

Enteeseganya wakati wa Rwanda ne DRC zigudde butaka – president Kagame azeesambye

December 16, 2024
Akakiiko k’ebyokulonda kalaze nti okulonda okuwedde okw’abavubuka,abakadde n’abaliko obulemu kwatambudde bulungi n’ebitundu 99%

Akakiiko k’ebyokulonda kalaze nti okulonda okuwedde okw’abavubuka,abakadde n’abaliko obulemu kwatambudde bulungi n’ebitundu 99%

June 22, 2025
Buddu ekubye Gomba 1 : 0 – mu mupiira ogugguddewo empaka z’Amasaza 2025

Buddu ekubye Gomba 1 : 0 – mu mupiira ogugguddewo empaka z’Amasaza 2025

June 21, 2025
Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

June 20, 2025
Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

Eyaliko Supreme Mufti Sheik Suliman Ndirangwa afudde

June 20, 2025
Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

CBS@29 – Abakozi ba CBS abakyasiinze okuweereza emyaka emingi mu CBS baweereddwa amayinja ag’omuwendo okubasiima

June 20, 2025
Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

Ppulogulamu za CBS Emmanduso nga bwezikyusiddwa

June 20, 2025

Urban Zone programe empya ku CBS Emmanduso 89.2

June 20, 2025
Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio

Ebijaguzo bya CBS FM ng’ejaguza emyaka 29

June 20, 2025
Omuteesiteesi omukulu mu by’ensimbi Ramathan Ggoobi awadde bannauganda bettanire eby’obulimi n’obulambuzi – benogere ku nsimbi ezaayisiddwa mu mbalirira y’eggwanga 2025/2026

Omuteesiteesi omukulu mu by’ensimbi Ramathan Ggoobi awadde bannauganda bettanire eby’obulimi n’obulambuzi – benogere ku nsimbi ezaayisiddwa mu mbalirira y’eggwanga 2025/2026

June 19, 2025
Ssaabasumba Paul Ssemogerere atongozza ebijaguzo eby’emyaka 100 egya eklezia Lutikko eye Lubaga

Ssaabasumba Paul Ssemogerere atongozza ebijaguzo eby’emyaka 100 egya eklezia Lutikko eye Lubaga

June 19, 2025
Mu ppuloggulaamu Kkiriza oba Ggaana ku 89.2 – Omuteesiteesi omukulu Ramathan Ggoobi wakunnyonyola embalirira y’eggwanga 2025/2026 kyetegeeza eri ekitundu kyo

Mu ppuloggulaamu Kkiriza oba Ggaana ku 89.2 – Omuteesiteesi omukulu Ramathan Ggoobi wakunnyonyola embalirira y’eggwanga 2025/2026 kyetegeeza eri ekitundu kyo

June 19, 2025
Government ya Uganda esazeewo okuyita mu mawanga ag’omuliraano ne Iran ne Israel – okununula bannauganda abakoseddwa olutalo oluli mu mawanga ago

Government ya Uganda esazeewo okuyita mu mawanga ag’omuliraano ne Iran ne Israel – okununula bannauganda abakoseddwa olutalo oluli mu mawanga ago

June 18, 2025
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS ASSOCIATES
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
  • CBS PARTNERS
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Amawulire

Enteeseganya wakati wa Rwanda ne DRC zigudde butaka – president Kagame azeesambye

by Namubiru Juliet
December 16, 2024
in Amawulire
0 0
0
Enteeseganya wakati wa Rwanda ne DRC zigudde butaka – president Kagame azeesambye
0
SHARES
54
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Okugugulana wakati wabamuliraanywa ababiri Rwanda ne Democratic Republic of Congo kwandiba ssi kwakukoma kati, ensisinkano ebadde etegekeddwa mu Angola mu kibuga Luanda ey’okugonjoola ensonga egudde butaka.

Abakulembeze ba Rwanda ne DRC ababadde balina okusisinkana okutema empenda zokugonjoola obutakaanya obwo, egudde butaka omukulembeze w’e Rwanda Retired Maj Gen Paulo Kagame talinyeeyo.

Ensisinkano eno yayitiddwa omukulembeze wa Angola Joa Lourenco nga yeemu kwezo ezizze zituula mu kibuga ekyo okugonjoola obutaakanya wakati w’amawanga gombiriri, obuva ku bubinja bwabayeekera buli ggwanga bwerirumiriza linaaryo okubuvujjirira.

Rwanda erumiriza government ya DRC okuvujjirira akabinja ka The Democratic Forces for the liberation of Rwanda, akajojobya government ya Rwanda.

Ne DRC erumiriza Rwanda okuvujjirira akabinja ka M23 egitigomya.

Ensisinkano etudde mu kibuga Luanda ekya Angola olwaleero yetabiddwamu omukulembeze wa Angola yennyini kagiyita Joa Lourenco, eyali omukulembeze wa Kenya Uhuru Kenya nga yakulira enteekateeka z’okutabaganya abagugulana saako omukulembeze wa DR Congo Felix Tshihekedi

Abakulu abo, bakanze kulinda omukulembeze wa Rwanda Paulo Kagame wabula talabiseeko, era ensisinkano etuuse kwabulukuka nga Kagame talabiseeko, nebasalawo okujoongezaayo ekiseera ekitali kigere.

Ministry ya Rwanda ey’ensonga z’amawanga amalala efulumizza ekiwandiiko, neegamba nti tewali kisobola kutuukibwako, nti ng’abakulembeze ba DR Congo buli olukya beeyongera okusosonkereza Rwanda.

Obubinja bwabayeekera obusoba mu 100, ebiwandiiko biraga nti bwebuli mu DR Congo naddala ekitundu lya Eastern Congo ewafumbekedde eby’obugagga ebyomuttaka.

DR Congo ezze erumiriza Rwanda nti ekozesa akabinja ka M23 nekigendererwa ekyokuwamba ekitundu kya Eastern DR Congo okubba ebyobugagga ebyomuttaka n’okukyeddiza, songa ne Rwanda eze erumiriza DRCongo okuvugirira akabinja ka The Democratic Forces for the liberation of Rwanda okumaamulao government ya Kagame. #

ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Akakiiko k’ebyokulonda kalaze nti okulonda okuwedde okw’abavubuka,abakadde n’abaliko obulemu kwatambudde bulungi n’ebitundu 99%
  • Buddu ekubye Gomba 1 : 0 – mu mupiira ogugguddewo empaka z’Amasaza 2025
  • Kooti ejulirwamu enywezezza ekibonerezo ekyaweebwa Wamala Godfrey Troy eyasingizibwa ogw’okutta omuyimbi Mowzey Radio
  • Eyaliko Supreme Mufti Sheik Suliman Ndirangwa afudde
  • CBS@29 – Abakozi ba CBS abakyasiinze okuweereza emyaka emingi mu CBS baweereddwa amayinja ag’omuwendo okubasiima

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • CBS ASSOCIATES
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist