Buli ng’ennaku z’omwezi 26 January, government ya NRA/NRM ejaguza olunaku lwebaatuuna Olw’ameenunula.
Abaali abayeekera ba NRA bawamba obuyinza nga 26 January 1986.
Omwaka guno emikolo emikulu egy’ameenunula g’eggwanga Uganda giyindira mu district y’e Kakumiro.
Emikolo gino Gyakutambulira ku mulamwa ogugamba nti “Tuteekwa buteekwa okutuukiriza ekisuubizo kyaffe ekyokukyusa eggwanga”.#