Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ayanjudde enteekateeka y’okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II eg’emyaka 68.
Obuganda bwakujaguza amazaalibwa ga Omutanda nga 13 April 2023, ng’emikolo gyakuyindira mu Lubiri e Mengo.
Katikkiro agambye nti n’omulundi guno omukolo gwakubeera musaamusaamu nga gwakubaako abagenyi bayite bokka 250.
Ategeezezza nti bakyetegereza embeera ezikwata ku nsonga ez’enjawulo omuli n’ebyobulamu olwo baddemu okutegeka emikolo gyabonna.
Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi olw’emikolo gy’amazaalibwa ga Kabaka Owek David Mpanga alambuludde enteekateeka y’omukolo guno, gw’agambye nti gwakumala essaawa emu n’ekitundu yokka.
Agambye nti wajja kubaawo okusanyusaamu Maasomooji okusaamusaamu n’oluvanyuma asiime agabule Obuganda.
Olukiiko kuliko Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ng’omumyuka wa ssentebe, Owek Joseph Kawuki ne Owek. Kiyimba Noah.
Mu ngeri yeemu Katikkiro Charles Peter Mayiga mu butongole alangiridde, nti Ssaabasajja Kabaka asiimye okusimbula abaddusi b’emisinde gy’amazaalibwa ge ku sunday ejja nga 16 April, 2023 mu Lubiri e Mengo ku ssaawa emu eyokumakya.
Agambye nti Beene yasiima n’ayongerayo emyaka emirala esatu, ensimbi eziva mu misinde gy’amazaalibwa ge zeeyambisibwe mu kulwanyisa nnawookeera w’ekirwadde kya mukenenya.
Emisinde gy’omulundi guno gisuubirwako abaddusi emitwalo kkumi.
Obujoozi obuddukirwamu bugula shs 20,000 zokka mu bifo ebyenjawulo.
Givujjiriddwa kampuni ya Airtel Uganda n’abalala.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K