Mu mpaka z’ebika by’abaganda ez’ekikopo ky’omupiira ogw’ebigere, bazzukulu ba Kalibbala ab’eddira Enseenene bawangudde bazzukulu ba Nnamwama ab’eddira Ekkobe ku ggoolo 1-0, mu mupiira ogubadde ogw’okulondako abakutte eky’okusatu.
Omupiira gubadde mun kisaawe e Wankulukuku.
Brian Masembe yaateebye ggoolo y’Enseenene.
Omupiira oguddako ogw’akamalirizo ku guli wakati wa bazzukulu ba Lwomwa ab’endiga ne bazzukulu ba Nsamba ab’Engabi. #