Program Entanda ya Buganda ku 88.8 cbs Fm, bino bye bibuuzo ebyabuuziddwa nga 13.10.203.
Abamegganyi okuli Kabali Fred ow’enseenene eyafunye obugoba 27 ne Kizito Innocent ow’emmamba eyafunye 25 baayiseewo okweyingerayo ku mutendera oguddako ate, Musajjaalumbwa Joseph eyafunye obugoba 14 wano teyasusseewo.
Bino bye bibuuzo ebyabasoyeddwa:
1. Obutiko obuyitibwa Obuggya n’amazzi, bulina erinnya eddala eribuweebwa, lyeririwa? – Obuggya n’amazzi
2. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo Obutaayi – Waliwo obunyonyi n’obutakataka obuyinza okukuba singa oba otambulira mu nkuba.
3. Mu mpisa z’a Abaganda ezidda ku kisenge, Omusajja asula ku mugguukiriro gwa Kitanda, Ssekabaka ki eyaleeta empisa eyo – Ssekabaka Kamaanya.
4. Amannya g’ebika by’ebijanjaalo ga mirundi esatu – Kanyeebwa, Nnambaale ne Nnakkeera.
5. Ekipimo Omuganda mwapimira omuzigo omuganda – Empomero, Akatole oba Ettu.
6. Omwana omuwala azaaliddwa ekiro ng’enkuba etonnya aweebwa linnya ki? – Nnamujumbi.
7. Abakwasi b’enseenene balina ebintu byebakola nga byoleka empisa y’ekizza nganda. Byebiriwa? – Asooka okulaba enseenene abaguliza ku banne ng’akuba wuuli, wamu era asooka okukwata enseenene aboneekekereza ku munne.
8. Mpaayo endwadde emu esaasaanyizibwa enswera. – Ekiddukano.
9. Tubuulireyo ebintu bibiri ebitabula ku mukolo ogw’okuyingira Enju y’Omuganda. – Emmwanyi n’amazzi g’okuluzzi.
10. Mpaayo engeri bbiri omuntu mwayinza okwetangiramu obubenje obuva ku masannyalaze –
Obutalinnya mu mazzi ate n’akwata ku masannyalaze, n’okugaggyako bwaba talina kyagakozesa.
11. Kabaka ki eyagaana abakazi okunoba ku ba bbaabwe – Kabaka Kamaanya.
12. Tuweeyo ebika bibiri ebirina obutaka bwabyo mu Kyaddondo – Envuma ne Empologoma.
13. Olugero: Atabubira nsiko ye, taliira – Ensiko tezirya mmwanyi.
14. Makulu ki agali mu kibbo ekiweebwa lubuga? – Mwawaatira emmere gyanaagabulanga abagenyi.
15. Tuweeyo ebika by’emisota bibiri egitalina busagwa – Nawandagala n’ekiryankondwe.
16. Muzizo ki omukulu ogudda ku mwenge omuko gw’atwala ezaalibwa mukyala we – Tagunywako.
17. Waliwo ekika ekirina omubala omuli ekisoko kino, “Batantadde” Kika ki? – Abalangira b’e Busiro.
18. Abaganda balina omuntu gwebayita Nnalukoola, oyo yaaba atya? – Ye muntu agula ekibanja ata n’azimba gyekikoma, tayagala kuba na banne.
19. Ensangi zino abaganda battukizza nnyo empisa y’okweyoteza, mpaayo ebintu bisatu ebitandibuze mu kweyoteza – Olumbugu, essaaniiko, ebikoola bya kalittunsi n;ebirala.
20. Amakulu g’ekigambo “ekigaaga” – Ekitole ky’ettooke ekikoze n’ekijanjaalo ekiringa akayindiyindi.
21. Omutaka atikkira Kabaka enguugu, aliko ekika ky’akulira, ekika ekyo kyekiriwa? – Mmamba Kakoboza.
22. Olugero: Ssegulira emmandwa etuule – nga byeyamulagula byatuukirira.
23. Erinnya eryaweebwa omutaka w’e Birongo mu Buddu nga liva mu kutta omukago ne Kabaka w’e Buganda – Omutaka Kiganda.
24. Ekintu kimu ekikulu ekitwalirwa omukazi okumuggya mu masanja ga mukadde we? – Atwalirwa olugoye.
25. Ekisoko kino kitegeeza ki? Okulyayo ekisula – Okugenda awantu n’osulayo.
26. Ekikolwa ky’enkoko enoonya weenaabikira kiweebwa linnya ki? – Kutaga.
27. Omutaka w’e Luwunga aweebwa linnya ki? – Kagenda.
28. Olugero: Mugano gwa nswa – Teguleka mukadde waka.
29. Amakulu ga mirundi ebiri ag’ekigambo ekinyomo. – (ekiwuka ekiyitibwa ekinyomo n’ekiyumba kyakyo kiyitibwa kinyomo)
30. Ssinga owulira omuntu gwebawereekereza ebigambo bino “Mubatte bukazi “otegeera ki? – Ggwebabiweereekereza aba agenda kutabaala.
31. Kabaka ki eyatandikawo Bulungibwansi – Kabaka Ttembo.
32. Mpaayo akalombolombo kamu ku muntu asala amalagala g’okubyala – Omuntu oyo asima ku lumonde n’amutwala.
33. Ekifo omuwundirwa amakula ga Kabaka – Kaajaga.
34. Embuga enkulu ey’essaza Kyaddodo esangibwa ku kyalo ki? – Kasangati.
35. Mu Buganda mulimu ebiseera bya mirundi emeka omukungulwa emmere – Ebiri.
36. Olunaku lwa Bulungibwansi lukuzibwa ddi? – Nga 08.10
37. Olugero: Ekyeyagalire – Tekiringa kikwatire.
38. Empalabwa mu mannya ga Kabaka, litegeeza ki? – Empologoma ensajja ate nga nvubuka.
39. Omuganda kiki kyayita Akayuuya. – Akaso akakosesebwa okusala essubi.
40. Ekisoko: Okukirimba omusenze – Okulimba omuntu kyatamanyi mudda n’akimanya.
41. Kabaka omu yatuuma omulongowe Lutimba, Kirimu makulu ki? – Kabaka alinga kitimba taddukwa.
42. Kkoyi kkoyi, waliwo ensolo emu yokka omukazi gyakkirizibwa okubaaga, nsolo ki? – Ettungulu.
43. Olugero: Eyaayonoonye – Bwasanga bwatunula.
44. Ekintu abaweesi kyebeeyambisa okukuma omuliro mu ssasa lyabwe kiweebwa linnya ki? – Omuvubo.
45. Kabaka wa Buganda ki eyasooka okuyita Katikkiro we Kabaka owebweru? – Ssekabaka Muteesa I
Bitegekeddwa: Kamulegeya Achileo K