Bazzukulu ba Nsamba abe Ngabi Ensamba bongedde okulaga eryanyi mu nteekateeka z’ekika kino okweddiza engabo y’emipiira gy’ebika bya Baganda egy’omupiira ogw’ebigere omwaka guno 2025, bwe bakubye Olulyo Olulangira goolo 4-1.
Omupiira guno ogunyumidde abalabi ku kisaawe kya Kibuli SS, e Ngabi yesoose okuteeba nga eyita mu Bruno Bunyaga, kyokka Abalangira bagasse omupiira guno nga bayita mu kusimula peneti eteebeddwa Ivan Mutebi.
Mu kiseera kye kimu omuzannyi we Ngabi Ensamba Samson Kasozi bamuwadde kaadi emyufu, kyokka Engabi Ensamba eteebye goolo endala 3 nga eyita mu bazannyi Najib Yiga, Frank Matovu ne Bruno Bunyaga ateebye goolo 2 mu mupiira guno.
Olugavu lugudde maliri ne Nkima goolo 1-1, e Mbogo ekubye Ensenene goolo 1-0 etebeddwa Nelson Ssenkatuka, ate nga Engo ekubye Obutiko goolo 1-0 etebeddwa Joseph Ssemujju.
Endiga ekubye e Mpindi goolo 1-0 etebeddwa Dan Sserunkuma, Omutima Omusagi gukubye e Njaza goolo 1-0 etebeddwa Ivan Mayanja.
Emamba Kakoboza ekubye e Ngabi Ennyunga goolo 2-0 ate nga e Kkobe likubye Akasimba goolo 2-0.
Emipiira gino gya mutendera ogw’ebibinja, era emipiira gigenda kuddamu okuzannyibwa ku lw’okubiri nga 20 May,2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe