Ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’emisinde mu Uganda ekya Uganda Athletics, mu butongole kigenda kujaguza emyaka 100 bukyanga kitandikibwayo, n’ebikujjuko bye mizannyo ebya Akii-Bua Memorial Invitational Meet.
Ebikujjuko bino bigenda kuberawo nga 07 June,2025 mu kisaawe e Namboole.
Mu nteekateeka eno Uganda egenda kwaniriza abaddusi okuva mu Eritrea, South Sudan, Ethiopia, Kenya naabategesi aba Uganda.
President wa Uganda Athletics, Dominic Otucet, akonogaanyizza nti emyaka gino bagenda kugijaguza n’empaka za Akii-Bua Memorial Invitationl Meet, olw’ensonga nti omugenzi John Akii-Bua ye yaggulirawo Uganda olujji olw’okuwangula emidaali ku mutendera gw’ensi yonna.
John Akiib-Bua ye yasooka okuwangulira Uganda omudaali gwa zaabu mu mpaka za Olympics eza 1972 e Munich Germany, mu misinde gya 400m egy’okudduka nga obuuka obusenge.
Abaddusi bonna abagenda okwetaba mu mpaka za Akii-Bua Memorial Invitational Meet, bagenda kulwanira ensimbi emitwalo 50 aga doola.
Werutikidde olwaleero nga Uganda yakawangula emidaali 13 okuva mu mpaka za Olympics, nga kuno kuliko 8 egiwanguddwa mu muzannyo gw’emisinde nga ne midaali 5 gya zaabu.
Ekibiina ekiddukanya emisinde mu Uganda ekyasookera ddala ki Uganda Athletic Amatuer Association kyatandikibwawo mu 1925, ekizze kyeyubula mu mannya agenjawulo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe