Empaka za masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere zongedde okuvaamu ebibala, club ya Vipers eya Uganda Premier League eri mu nteekateeka ezisembayo okukansa omuwuwutanyi Amour Munogera okutandika okubacangira endiba.
Amour Munogera yazannyidde ttiimu y’essaza Buweekula mu mpaka za masaza 2024, era yalondebwa ng’omuzannyi eyasinga okucanga endiba mu mpaka ezo.
Munogera era yayambyeko Buweekula okukwata ekifo eky’okusatu, baakuba Kyadondo goolo 3-1 mu kisaawe e Namboole, nga empaka zino zawangulwa Buddu bweyakuba Kyaggwe goolo 1-0.
Ensonda ezesigikika zikakasiza nti Vipers yakuwa Amour Munogera endagaano ya myaka 2 ng’abacangira endiba, oluvannyuma lw’okumala akaseera ng’atendekebwa ne Vipers.
Monogera era ajjukirwa nnyo okuyambako Bulemeezi okuwangula ekikopo kya Masaza ekya 2023 bwe baakuba Gomba ku final e Wankulukuku goolo 1-0.
Mu Vipers gy’agenda yamazeko oluzaannya lwa liigi olusooka ng’ekulembedde n’obubonero 34 okuva mu mipiira 15.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe