Omwami wa Kabaka atwala essaza Buddu, Ppookino Jude Muleke atongozza ttiimu y’essaza eri Bannabuddu egenda okuvuganya mu mpaka za Masaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025.
Ppookino Jude Muleke ttiimu eno agitongolezza ku kisaawe kya Kitovu Arena mu kibuga Masaka.
Wabaddewo omupiira ogw’omukwano, Buddu nekuba Mawogola goolo 1-0 eteebeddwa captain Joseph Kayondo.
Wakati mu Bannabuddu azze mu bungi okube erawo nga ttiimu yabwe etongozebwa, Ppookino Jude Muleke, abasabye okuddukirira ttiimu yabwe mungeri zonna zebasobola okusobola okweddiza ekikopo kino.
Buddu y’egenda okuggulawo empaka z’omwaka guno nga ettunka ne Gomba nga 21 June,2025 e Masaka.
Amasaza amalala, Mawokota nayo etongoza ttiimu yaayo mu kisaawe e Buwama, nga nayo egudde maliri ne Busiro goolo 1-1 mu mupiira ogw’omukwano.
Buweekula nayo etongozza ttiimu yaayo mu kisaawe kya Mubende NTC, era Buweekula egudde maliri ne Butambala goolo 1-1.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe