Olwaleero nga 07 June,2025 mu kisaawe e Wankulukuku, z’empaka ez’akamalirizo ez’ebika by’Abaganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2025.
Bazzukulu ba Nsamba abe Ngabi be bagenda okuzuzumba ne bazukulu ba Lwomwa abe Ndiga ku saawa 9 ez’olweggulo, era omupiira guno gugenda kuwerezebwa butereevu wano ku mutimbagano, okuyita ku radio CBS 88.8.
Wabula omupiira guno nga tegunatandika wajja kusookawo omupiira ogw’okulwanira ekifo eky’okusatu wakati w’eNsenene nga ettunka ne Kkobe ku saawa 6 ez’omuttuntu.
Minister w’ebyemizannyo abavubuka ne bitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga, akakasiza Obuganda nti enteekateeka zitambudde bulungi, era akakasiza nti abaana abato bagenda kuyingirira bwereere mu kisaawe e Wankulukuku.
Ssentebe w’olukiiko oluddukanya empaka z’ebika bya Baganda, Katambala Al Hajji Sulaiman Magala, yebaziza Obuganda obujjumbidde emipiira gino okuva ku lunaku olwasooka.
Katambala Al Hajji Sulaiman Magala agambye nti Obuganda Bika nga n’olwekyo abantu ba Buganda batekeddwa okulaga akabonero nga bajja mu bungi mu kisaawe e Wankulukuku.
Bazukulu ba Nsamba abe Ngabi be bannantamegwa b’empaka ezasembayo eza 2024, wabula banoonya okuwangula engabo eno omulundi gwabwe ogwomukaaga, ate nga e Ndiga enoonya engabo ey’omulundi ogw’okubiri nga basooka kugiwangula mu 2022.
Empaka z’ebika bya Baganda okuva lwe zaqatandika mu 1950, bazukulu ba Gabunga abe Mamba Namakaka be bakyasinze okuwangula engabo eno emirundi emingi 10, Olugave engabo 7, Engabi Ensamba engabo 5 nabalala ne bagoberera.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe