Omumbejja Ritah Nakamaanya omutuuze we Buloba yawangudde Mmotoka kapyata kika kya Toyota Noah, mukazanyo ka CBS Ssabula Bbingo.
Akazannyo kagendererwamu okuddiza ku bawuliriza ba CBS, ng’ejaguza emyaka 29 okuva lweyatandikibwawo.
Omumbejja Nakamaanya okuwangula yeetabye mu kusabula Bingo, abadde yakazannya emirundi 200.
Kino kitegeeza nti omumbejja akozesezza emitwalo 40 okuwangula mmotoka eyoobukadde n’obukadde bwensimbi kapyata, nga buli luzanya mu kusabula bbingo omuntu kimwetaagisa siringisi enkumi 2000/= zokka.
Abawanguzi ba Ssabula Bingo ebirabo babiwangulidde mu program Sunday Mega Drive, ekubirizibwa Mbaziira Tonny 89.2 Emmangudoa, ne mu ppulogulam Musanyusa ekolebwa MC Wale Wale ne DJ Stevo, buli lwa Sunday ku Mmanduso.
Nakamanya ono ategezezza nti akola ku dduuka erimu era asuubira okukozesa mmotoka eno, okusuubula emaali, okutwala abaana ku ssomero neebirala.
Mungeri yeemu naabawanguzi abalala Dan Kyazze owe Kawaala Kasubi ne John Ssemujumbi owe Gangu Busaabala, bawangudde kavu wa bukadde bubiri neemitwalo 90 buli omu.
ssonga naabantu abalala 20 bafunye kavu wa mitwalo 29 buli omu eyetabye mu kusabula Bbingo nga 29 June,2025.
Okuwangula kuno byeebimu ku bikujjuko ebyokuntikko wakati nga CBS eweza emyaka 29 kyokka nga akazanyo kookusabula Bbingo kakyagenda mu maaso ne mu program endala.#