Ekitongole ki Slow Food International ekivunaanyizibwa ku kusomesa abalimi okulima emmere ennansi kigamba nti ebimera n’ebitonde ebimu byongedde okusaanawo wano mu Uganda olw’eddagala ely’obulabe erikozesebwa naddala mu kulima n’okulunda ensangi zino.
President w’ekitongole kino munsi yonna era atwala ettabi ly’ekitongole kino wano mu Uganda Edward Mukiibi abyogeredde ku Governors Hotel mu kibuga Mukono.
Babadde batongoza enteekateeka ya Slow Food empya etuumiddwa “My Food, my Identity” egendereddwamu okutumbula emmere ennansi mu ggwanga okumala ebbanga lya mwaka mulamba.
Mukiibi ategeezezza nti eddagala erimu erikozesebwa mu bulimi n’obulunzi lyabulabe eri obulamu bw’abantu abalikoseza n’abalya ebirime bino.
Omukungu Edward Mukiibi awanjagidde government okuteekawo amateeka amakakali agagendereddwamu okulwanyisa eddagala lino ekyamu era ely’obulabe, erisanyizaawo ebitonde ng’obuwuka ate obw’omugaso ennyo eri ebitonde ebirala.
Edward Mukiibi alumirizza nti abamu ku bayingizza eddagala lino ely’obulabe mu ggwanga b’ebantu abali mu bifo ebinene mu ggwanga, nga bagenderera okufuna ensimbi ennyingi era ez’amangu nebatafa ku bulamu.
Annyonyodde nti ebitundu nga Wakiso ne disticts ez’obukiika kkono bw’eggwanga zezisingamu abantu abakoseddwa eddagala lino eritasaanidde era eritundibwa ku katale ka Uganda nerisanyaawo emmere ennansi.
Omukwanaganya w’emirimu gy’ekitongole kino wano mu ggwanga John Kiwagalo annyonyodde ku nteekateeka eno eya My Food, my Identity egendereddwamu okutumbula emmere ennansi nga Muwogo, Lumonde, amatooke, Balugu, Endaggu, enva endiirwa, enkoko eng’anda, n’ebirala era nakowoola Banna-Uganda okuwagira enteekateeka eno.
Kiwagalo asabye gavumenti yakuno okuvaayo okussa essira mu kutumbula emmere ennansi era egyifuule ekimu ku by’obulambuzi ebyettanirwa wano mu ggwanga.
Abamu ku balimi b’emmere ennansi okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga bakulembeddwamu Nanyunja Noel bagamba nti okusomoozebwa kwebayitamu gamba ng’abaguzi okwesamba okugula emmere yabwe n’ebirime ebirala, ettaka okuba nga telikyabalako birime n’ebirala kibaviiriddeko okunafuwa mu kukola omulimu guno.
Bisakiddwa : Kawere Wilber