Abatuuze ku byalo eby’enjawulo mu ggombolola ye Lugusuulu basattira oluvanyuma ly’Embogo ensajja okubalumba.
Abatuuze ku kyalo Kyemamba n’ebirala ebiriranyeewo bagamba nti Embogo eno bagiraba kiro oluusi n’emisana era mubifo ebimu eboononedde ebintu byebalima.
Akulira Police ye Ssembabule Afande Hiduja Abud Nasser agambye nti abamu ku bantu abasembye okugiraba, bagamba nti baajirabye ku faamu y’Omulunzi Musinguzi era ono asabye abantu nti bwebagiraba bewale okujigoberera kuba yabulabe.
Afande Hiduja Abud Nasser asabye ab’ekitongole ekivunanyizibwa ku bisolo eby’omunsiko egende mu kitundu ekyo ebataase tenabatuusa bulabe ku bantu.
Era alabudde abatuuze naddala abalina Embwa okuzitaangira okutuusa obulabe ku mbogo eno nti kubanga bwenaafuna ekisago kyonna ejja kutabuka.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito