Paapa wa eklezia ya Orthodox omutukuvu Tawadros II atabukidde abakulembeze mu mawanga ga Africa olw’okuwakula entalo ezitaggwa ,nókutingana mu mawanga gano nti bino byebigalemesezza okukula.
Obubaka wa pope Tawadros II bumusomedwa ssaabasumba wa ba Orthodox mu Uganda Metropolitan Jeronemos Muzei, mu bubaka bwe obwámazuukira ga Yesu agakuziddwa leero.
Agambye nti kikwasa ennaku okulaba abantu nga battibwa buli lunaku,abantu abakozesa eryanyi ly’e mmundu okufutubbala ku balala,abaana abato battibwako bazadde babwe nebasigala nga babonabona n’ebirala.
Agamba nti abantu bonna abakola bino naddala abakulembeze balina okujjukira nti eryanyi liriko ekkomo, nti era waliwo abasinga amaanyi bonna ye Katonda.
Fr Daniel Musiitwa yakiikiridde olukiiko olutaba enzikiriza ezisuuta Yesu Kristo olwa Uganda Joint Christian Council, agambye nti ebikolwa ebyettima n’okwefaako bokka nga bikulemberwamu abakulembeze,ebyeyongera mu ggwanga lino birina okukomezebwa .
Wano wasabidde abakozesa obukambwe kubannabwe bakikomye nti kubanga kisiga obukyayi munsi.
Omubaka w’e Lwemiyaga Theodore Ssekikubo asinzidde mu kusaba kw’amazuukira e Namungoona, nategeeza nti ekisibye ebikolwa ebyekko mu ggwanga lino,be bantu abamu okulowooza nti eggwanga lino lyabwe era buli kyebaagala kyebakola nebatafa ku balala.
Asabye bannaddiini nti bongere okusabira eggwanga lino, nti kubanga Uganda gyeraga eyinza okufuuka eyabakulembeze b’obufuzi mu nkola ey’ensikirano.