Government eyawakati ng’eyita mu ministry y’ebyobulambuzi mu butongole ekwasizza mu butongole Obwakabaka bwa Buganda ennyumba Bujjabukula, emu ku zisangibwa mu masiro ga ba Ssekabaka e Kasubi.
Ennyumba eno yeemu ku zaabengeya mu nnabbambula w’omuliro eyakwata amasiro mu 2010, era nga kitundu ku mulimu gw’okumaliriza okuzaawo amasiro g’e Kasubi.
Bujjabukula ezziddwawo nerabika nga bweyali ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa l, nga kino kituukiddwako olwenkolagana wakati wa government ya Ssaabasajja , government yawakati n’Obuyambi okuva mu kitongole ky’ensi yonna eky’Obulambuzi ki UNESCO.
Minister omubeezi ow’ebyoblambuzi Martin Mugula, agambye nti government yakwongera okukwatagana ne Buganda naddala mu nsonga z’okutumbula ebyobulamuzi, n’okukulaakulanya eby’obuwanga n’ennono.
Mu mbeera yeemu, Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza ebyuma ebyomulembe ebizikiriza omuliro nga byenasula byokka, ssinga guba guzzeemu okulumba Amasiro.
Ebyuma bino ebyomulembe okusimbibwa mu masiro, byavujjirirwa government ya Japan ng’eyita mu kitongole ky’ekibiina ky’amawanga amagatte ekya UNESCO.
Japan yawaayo obukadde bw’ensimbi za America 50 okuvujjirira omulimu guno.
Katikkiro yeebazizza bannamukago aba UNESCO wamu ne government ya Japan neya Uganda olwokukwasizaako Obwakabaka okukomyawo ekitiibwa ky’amasiro ga bassekabaka.
Agambye nti omulimu gw’okuzzaawo n’okumaliriza amasiro gubaddemu emisoso mingi egirina okugobererwa naddala egy’ennono etalina kusobezebwa.
Buli nnyumba eti mu masiro e Kasubi essiddwako ekyuma ekizikiza omuliro.
Katikkiro yeebazizza nnyo ssentebe n’olukiiko lwonna olwakwasibwa omulimu gw’okuzzaawo amasiro g’e Kasubi Owek. Kaddu Kiberu, ba yinginiya abali ku mulimu guno na bonna abayambako mu ntambuza y’emirimu naddala Katikkiro w’amasiro n’abazaana.
Bisakiddwa: Naluyange Kellen K