Omulimu gw’okuddabiriza ekisaawe kya Muteesa II Stadium e Wankulukuku gutandikiddwako, nga ebimu ku bisaawe ebigenda okukozesebwa nga Uganda ekyazizza empaka za African Nations Championships CHAN.
Empaka za CHAN zigenda kutegekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania, era zigenda kubeerawo okuva nga 01 okutuuka nga 28 February omwaka ogujja 2025.
Omulimu gw’okuddaabiriza ekisaawe kye Wankulukuku gukolebwa ekitongole kya Magye ekya UPDF Engineering Brigade, era nga be baakola n’omulimu gw’okuddaabiriza ekisaawe kye Namboole.
Wankuluku agenda kutekebwako ebitaala, ebisenge abazannyi mwebambalira ebitukana n’omutindo n’ekifo abakungu webatuula.
Wankulukuku kye kimu bisaawe ebigenda okukozesebwa ttiimu za CHAN mu kutendekebwa, nga ebirala kuliko ekisaawe ekiri wabweru wa Namboole, Kampala International School Uganda ne Kadiba.
Ebisaawe okuli Kabaka Kyabaggu, Africa Bible University Lubowa byagyiddwa mu nteekateeka olw’engendo empanvu, ate nga ekisaawe kya Kyambogo University kigenda kuba tekinamalirizibwa kuddabirizibwa.
Bitegekeddwa: Isah Kimbugwe