Ekisaakaate kya Nnaabageraka eky’amasomero agali ku mutendera gw’ensi yonna agamanyiddwa nga International Schools, kigguddwawo ku ssomero lya Kabojja International School.
Omumyuka wa sipiika w’olukiiko lwa Buganda Owek Ahmed Lwasa, bwabadde aggulawo Ekisaakaate kino atenderezza nnyo amaanyi Nnaabagereka gataddemu mu kulambika n`okuteekateeka emiti emito.
Ategeezezza nti abagunjuzi bagenda kugunjula abaana ennono n`obuwangwa obwenjawulo, kubanga Ekisaakaate kino Kiri ku mutendera gwansi yonna ogwa International Schools.
Owek Rashid Lukwago Ssabagunjuzi w’Ekisakaate, akoowodde abazadde abatanaleeta baana babwe okwanguwako, kubanga ekisakaate kino kitereddwamu ebinnonogo bingi nnyo.

Sam Turya Principle w’essomero lya Kabojja International, agambye nti tewali mwana agenda kwetaba mukisaate kino addeyo nga bweyazze.
Namusoke Sylvia avunanyizibwa ku mbeera z’abayizi ku ssomero lya Kabojja International, agambye nti beteeseteese bulungi okubangula abaana beggwanga.
Ekisaakaate kinno eky’amasomero agali ku mutendera gwensi yonna agamanyiddwa nga International Schools, kigenda kukomekerezebwa nga 12th Omwezi guno ogwa July,2025, kitambulidde ku mulamwa ogugamba nti okukwanaganya obuwangwa bwaffe ne Technologiya.
Bisakiddwa: Musisi John