Ebijaguzo bya Radio ya Ssaabasajja Kabaka CBS eby’emyaka 29 mu Lubiri e Mmengo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga, ssenkulu wa CBS Omuk.Michael Kawooya Mwebe, neSsentebe wa Boodi ya CBS Omuk David Balaaka
Katikkiro Charles Peter Mayiga ye mugenyi omukulu.
Cbs FM yagenda ku mpewo nga 22 June,1996.
Katikkiro asanyukidde Entekateeka ya Radio ya CBS empya ey’Okubbululira Radio ya Beene CBS mu bavubuka, nga ejaguza okuweza emyaka 29 n’Okutmbuza emyaaka 30 ng’ebuukula.
Katikkiro asabye Radio ya Beene eyongere okusitula Abavubuka, kyokka ereme kweerabira kubazimbira ku Nnono n’Obuwangwa.
CBS@29: Katikkiro Charles Peter Mayiga ne boodi ya CBS
Minister w’Ebyamawulire ,Okukunga ate omwogezi w’Obwakabaka Owek Isreal Kazibwe Kitooke, agambye nti Abavubuka baakukyuusa Ensi Eno nga bakozesa bulungi emitimbagano ne takinilogiya.
Yebazizza Radio ya Beene olwokutandikawo emikutu Emidigito egiddukanyizibwa ku musingi gwa tekinologiya, ate nga giwadde Abavubuka emirimu.
CBS@29: Katikkiro Charles Peter Mayiga n’abamu ku bakozi ba CBS
Ssentebe wa Boodi ya CBS Omuk David Balaaka, yabazizza Abantu ba Beene naddala aba funs club olwokusitula Radio Eno mu kugiwuliriza, era neyeeyama okwongera okuggumiza emiramwa Radio ya Kabaka kwetambulira.
Ssenkulu wa CBS Omuk.Michael Kawooya Mwebe ng’ayanjula abakulira ebitongole ebyenjawulo ku CBS
Ssenkulu wa Radio ya Beene Omuk Michael Kawooya Mweebe , yebazizza Abakulira abaweereza ba Radio ya Beene olwobukulembeze obw’ebibala, obutuusizza Radio eno ku ntikko ebbanga lyonna.
Abaweereza ba Radio CBS okumala ebbanga eddene okubadde Omuk Michael Kawooya Mweebe,Omuk Robert Kasozi, akulira ebiweerezebwa ku Mpewo Hajji Abbey Mukiibi Nkaaga, Rose Nakabanda baweereddwa Amayinja agomuwendo agokubeebaza okuweereza Kabaka.
Mu ngeri yeemu abantu abenjawulo naddala abamaze ebbanga nga bakuma essimu ku CBS n’okutandikawo ekibiina kya CBS FANS club, omuli Charles Kasujja Baako kyooyiga, Joseph Waliggo owa Wajob portable furniture ,Nalongo Gayita e Bukunda, Alex Ssejjemba amanyiddwa ennyo nga Luba Kyooya baweereddwa ebbaluwa ezibeebaza okuwuliriza CBS.#