Eyeesimbyewo okuvuganya ku ntebe ya United States of America era eyaliko president, munna Republican Donald Trump asimattukidde watono okuttibwa omutemu owémmundu.
Trump owémyaka 78 abadde mu lukungaana olwókukuyega abalonzi mu ssaza Pennsylvania mu kibuga Butler.
Abadde yakalinnya akadaala okwogerako eri abawagizi be, omutujju kwe kumuwereekereza ebyasi ngásinziira waggulu ku kasolya kékizimbe ekya kkalina ekibadde kyesuddeko akabanga katono n’ekifo ewabadde omukolo.
Essasi erimu likwasizza Trump okutu okwa ddyo, amangu ddala abasirikale abakuuma abakungu aba (Secret Service) bamubuutikidde okumutaasa amasasi amalala okumukwasa, ne bamuyoolayoola okumuddusa mu ddwaaliro.
Wabula bamututte ayogera kimu nti mulwane mulwane (Fight , Fight).
Omutemu naye bamusindiridde amasasi agamuttiddewo, era mu kavuvungano ako waliwo noomuntu omulala attiddwa.
Waliwo abantu abalala 2 balumiziddwa, ate bbo abawagizi abalala ababadde mu lukungaana buli omu akutte gage.
Omutemu abadde yeegeza mu bulamu bwa Trump oluvannyuma ategeerekese nga ye Thomas Matthew Crooks owémyaka amakumi 20 gokka egy’obukulu.
Obunkenke bukyali bwa maanyi ddala mu America era Abamerika bakyebuuza ebibuuzo ntoko ku ttemu lino.
Embeera eguddewo buli Mumerika agyogerako bubwe, era Munnayuganda Brian Kayongo ate nga Munnamawulire ali mu America, atutegeezezza nti ebyókwerinda binywezeddwa gguluggulu naddala mu kibuga Newyork naddala ku kizimbe kya Trump.
Abakulembeze ku mitendera gyonna okwetoloola ensi yonna omuli ne president wa America Joe Biden munna Democratic party bwe battunka ku bukulembeze bwa America, bavumiridde ebikolwa bino ebyéttemu.#