Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kirangiridde omuteebi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Dennis Omedi, nga omuzannyi ayasinga banne okucanga endiba omwaka oguwedde 2024.
Omukolo gw’okutikkira bannamupiira abaasinga bannabwe okukola obulungi gubadde ku Serena Hotel mu Kampala.

FUFA nga eri wamu ne bannamukago baayo aba MTN, bakwasizza Dennis Omedi emotoka kapyata n’ensimbi enkalu akakadde ka shilling kamu.
Dennis Omedi omwaka ogwayita 2024 yayambako nnyo Uganda Cranes okukiika mu mpaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka guno 2025 ezigenda okubeera e Morocco, ate n’okuyambako club ya Kitara okuwangula ekikopo kya Stanbic Uganda Cup.
Dennis Omedi kungule eno amezze banne okubadde Allan Okello, Patrick Kakande, Ronald Ssekiganda ne Jude Ssemugabi.

Mu ngeri yeemu omuwala Zainah Nandede owa club ya Kampala Queens, yasinze mu bakazi okucanga endiba, era naye akwasiddwa kapyata w’emmotoka n’ensimbi akakadde kamu.

Brian Ssenyondo omutendesi wa Uganda Cubs, ye mutendesi asinze, ate nga Ayub Khalifah Kiyingi yasinze okutendeka ku ludda olw’abakazi.
Dennis Omedi yalondeddwa ku goolo y’omwaka gye yakuba KCCA mu mpaka za Super 8, ate James Bogere owa Masaka Sunshine yalondeddwa nga omuzannyi omuto.
Brian Nkuubi yasiinze mu mupiira gwa Beach Soccer, ate nga ekibiina kya Futsal kye kisinze okuddukanyizibwa obulungi nengule endala nyingi zigabiddwa.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe