Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF, kikakasizza eyaliko nakinku mu kucanga endiba ku ttiimu ya Uganda Cranes, Hassan Wasswa Mawanda, ng’omu ku bagenda okukulemberamu okukwata obululu obw’ebibinja obw’empaka za African Nations Championships (CHAN ) 2025.
Hassan Wasswa Mawanda yazannyira Uganda Cranes okumala emyaka 13 n’emipiira 76, era mu kukwata obululu buno agenda kubeera wamu ne Mrisho Ngasa eyazannyirako Tanzania ne McDonald Mariga eyali owa ttiimu ya Kenya.
Obululu obw’ebibinja obw’empaka za Chan bugenda kukwatibwa nga 15 January,2025 e Kenya.
Empaka za Chan zigenda kutandika nga 01 okutuuka nga 28 February,2025 era zigenda kutegekebwa Uganda, Kenya ne Tanzania.
Empaka zino zetabwamu abazannyi bokka abazannyira mu mawanga gabwe.
Uganda Cranes mu kiseera kino eri munkambi n’omutendesi Paul Joseph Put, nabazannyi 28 okwetegekera empaka zino.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe