Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye okulwanyisa obubenje ku nguudo kwongerwemu amaanyi,ng’essira lissibwa ku bupande bwokunguudo obuwandiikiddwa mu nnimi ennansi.
Katikkiro abadde asimbula mmotoka z’empaka ku Forest Park e Buloba, ezitegekeddwa okusonderako ensimbi ez’Olokuzimba ekifo webajjanjabira abagudde ku bubenje mu ddwaliro lya Nkozi Hospital.
Agambye nti obutamanya kusoma n’okutaputa bubaka obuwandiikibwa ku nguudo y’ensibuko y’obubenje obufiiramu abantu.
Katikkiro mungeri eyenjawulo yeebazizza bannabyamizannyo abavuzi b’emmotoka ne pikipiki ezempaka olw’Okweyunga ku kaweefube owookutumbula eby’obulamu mu ggwanga.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro past District Govnor Owek Robert Wagwa Nsibirwa yeebazizza Ssabasajja olw’Okubeera omusaale mu kulwanirira eby’obulamu, nga akozesa emikutu ky’Amawulire egy’Obwakabaka omuli CBS ne BBS Terefayina.
President w’ekibiina ekifuga omuzannyo gw’emmotoka z’empaka Dipu Ruparelia atenderezza Obwakabaka bwa Buganda olw’okutumbula omuzannyo guno , nga Radio CBS eyita mu mpaka za CBS Sprint mu Lubiri e Mengo, kyokka naalaga okutya olwobutabeera na ttaka ttongole ekibiina kwekiyinza okutegekera empaka z’Omuzannyo gw’emmotoka.
Akulira abavuzi ba ddigi mu ggwanga Angel Ssemukuutu asabye wabeewo enkola ey’Okusomesa abagoba ba boodaboda envuga egoberera amateeka, okukendeeza ku bubenje.
Abavuzi b’emmotoka 42 bebetabye mu mpaka zino, eziwanguddwa Byron Rugomoka wakati mu kire ky’enkuba ekitonnye olunaku lulamba obutasalako.
Bisakiddwa: Kato Denis