CBS radio edduukiridde abakadde abalabirirwa mu maka ga bakateeyamba e Nalukolongo mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Eno yeemu ku nteekateeka ya CBS ey’okujaguza emyaka 29 ng’eweereza bannauganda, ng’eyita mu ppulogulaamu zoku Mpewo, projects ya Nsindikanjake, Omwoleso gwa CBS Pewosa, Entanda ya Buganda nendala.
Mu bitwaliddwa mu bakateyaamba e Nalukolongo mulimu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo n’ebyokulya.
Batutte n’ensawo za Cement 10 okuyambako ku mulimu gw’okuddaabiriza amaka ago.
Sr. Nakiyaga Matilda omu ku balabirira amaka gano, yeebazizza nnyo Obwakabaka ne CBS olw’omutima omugabi nasaba n’abalala abalina obusobozi okubadduukirira.#