Ng’emu mu nteekateeka y’omwoleso gwa CBS Pewosa Nsindikanjake, n’okujaguza emyaka 29 egya CBS Radio, abakozi ba Cbs beetabye mu kaweefube w’okukola bulungi bwansi okwetooloola akatale ka Ssaabasajja Kabaka ake Kibuye, okukuuma obuyonjo n’okutaasa obutonde bw’ensi nga bakuηaanya obuveera n’obucupa.
Abakozi ba CBS begattiddwako aba kampuni ekola eby’okulya eya Sams ne Uganda Redcross.
Omwoleso gwa CBS Pewosa Nsindikanjake gutandika nga 17 – 22 June,2025, mu lubiri lwa Kabaka e Mengo.#