Nga CBS radio ekaguza emyaka 29 ng’eweereza bannauganda, waliwo abakoI 4 abamunku bakyasiinze okuweererezaako ebbanga eggwanvu, baweereddwa ebbaluwa n’amayinja agabeebaza (Long Service Awards).



Abasiimiddwa mu ngeri ey’enjawulo kuliko; Rose Nakabanda , Hajji Abbey Mukiibi, Omuk Robert Kasozi ne Ssenkulu Omuk Michael Kawooya Mwebe.
Amayinja gano gabakwasiddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ku mukolo ogibadde mu mwoleso gwa CBS Pewosa mu lubiri lwa Kabaka e Mengo.#