Venansio ssennoga
Ono yali muweereza ku Radio Uganda ne CBS.
Yakolanga pulogulamu: Ebibuuzo by’abatuwuliriza ku 88.8 n’endala
Obuzaale bwe:
Yazaalibwa nga 8 July, 1939 mu ssaza Mawokota.
Okusoma kwe
Yasomera Mitala Maria primary, Lubaga Junior, gye yava ne yeegatta ku St Mary’s College Kisubi, n’oluvannyuma naagenda asoma obusomesa e London.
Okukola kwe:
Yatandika okukola ku Radio mu 1961 nga ali mu siniya eyookuna.
Omukolo gwe ogwasooka gwe gwali okuweereza emikolo gy’amefuga ga Uganda nga 9.Oct. 1962 ekintu kye yakolera ddala obulungi ne bamusiima.
Mu mikolo emirala egy’amaanyi gye yaweereza mwe mwali Emikolo gya OAU mu 1975, okuzzibwa kw’enjole ya Sseekabaka Muteesa II, embaga ya Kabaka Mutebi, Okulayizibwa kwa Obote mu 1980, n’okwa president Yoweri Kaguta Museven mu 1986.
Pulogulaamu ze yakolanga:
Yakolanga pulogulaamu ezitali zimu omwali, amawulire, biva mu ntuuyo, ebifa mu nsi ne mubwengula n’endala nnyingi.
Omugenzi Venansiyo yatunyumiza nti nga laadiyo Uganda ekyaddukanyizibwa abazungu , lumu baamutuma e Masaka okukola omukolo, bwe gwaggwa yasala gonna agamutuusa e Kampala nga bakama be tebasuubira bibadde Masaka kugenda ku mpewo.
Agamba nti bwe yatuuka yasala amagezi gonna, ebibadde e Masaka ne bigenda ku mpewo ekintu ekyasanyusa ennyo bakama be era ne bamusiima. Eyali agenze okugezesebwa oba anaasobola awo weyafunira omulimu olwobujagujagu.
Era yava mu bulamu bwe nsi eno nga agamba nti “omuntu omujagujagu talemwa nsi”.
Agamba nti eyali tannatuuka kufuna musaala yatandika okufuna omusaala .
Agamba nti yali muntu mulamu era nga kye kyamusobozesa okugula e Bwaise ng’akyali muvubuka muto, nti kuba eyali atundawo yamwesiga olw’obuntu bulamu bwe.
Nga awummudde ku laadiyo Uganda, yeegatta ku CBS nga akola pulogulaamu ebibuuzo by’abatuwuliriza eyabeerangawo buli lwa Sunday ku 88.8 ku ssaawa munaana.
Pulogulaamu eno yanyumira nnyo abawuliriza anti baabuuzanga ebibuuzo bingi ku bintu ebitali bimu era nga abaanukula.
Pulogulaamu eno era yakubirizibwako Ssali Damascus , Mayanja Steven ne Godfrey Male Busuulwa.
Venasio Ssennoga yali munoonyereza mulungi ddala era okufaakwe kwasaala bangi.
Bu bitone omukama bye yali yawa Ssenoga mwe mwali okukusula ekintu, nga bwamala okukisoma teyeetaaga kuddamu kukisoma okukikwata mu mutwe.
Yali mwegendereza mu bye yali akola era nga mukwasi wa budde.
Venasio yeyasooka okukyusa ekigambo REBELS n’akikyusa n’akiyita abayeekera.
Yategeeza nti Ekigambo obuyeekerera yakiyiiya asoma mawulire.
Bwe yali avvuunula amawulire n’asanga ekigambo “REBELS” naalowooza mangu ekisobola okuggyayo amakulu.
Yalowooza ku maama afumba emmere nga ayagala eggye mangu.
Emmere eno agiyeekera omuliro.
Bwatyo naagamba nti nabano ba REBELS babeera bayeekera government eveeko, noolweekyo bagiyeekera.
Venansiyo Ssennoga yafiira ku myaka 73 era yaziikibwa nga 2.June 2011 e Bbongole mu Mawokota.
Bikungaanyiziddwa: Godfrey Male Busuulwa