Minister w'ensonga ze Kalamoja Mary Gorreti Kitutu essaawa yonna asuubirwa okusimbibwa mu kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo aggulweko emisango 2 egyobuli bwenguzi. Ssaabawaabi wa government Jane Frances Abodo yalagidde...
Ababaka ba parliament owa Kawempe North Muhammed Ssegirinya nowa Makindye west Allan Ssewanyana tebafunye mukisa kwogerako mu parliament.m oluvannyuma lw'ebbaga erisoba mu mwaka mulamba n'ekitundu nga bali mu kkomera. Ababaka...
Omuyizi abadde mu mwaka ogw'okusatu atiddwa mu kwekalakaasa okumaamidde ekibuga kya Kenya Nairobi, ng'abantu bekalakaasa olw'ebbeeyi y'ebintu okulinnya, nga kigambibwa nti bakumiddwamu omuliro bannabyabufuzi ab'ekibiina kya Azimio. Omuyizi abadde asomera...
Parliament esiimudde mu mateeka ga Uganda ezimu ku nnyingo z'amateeka, ezizze ziranngirirwa kkooti etaputa ssemateeka ne kkooti ensukulumu nti zimenya ssemateeka w'eggwanga. Ekitongole Kya Police kyekisinze okukosebwa mu nnongosereza eziyisiddwa...
Entiisa ebutikidde abakulembeze ba Kyengera Town Council bwebatuuse ku kitebe kya Town Council eno nga wofiisi zabwe zimansiddwako omusaayi n’ebiragalalagala n’ekigendererwa ekitanamanyika. Ofiisi esinze okuyiibwako ebintu enyo ye ya Mayor...
Olukiiko lwaba minister ku ludda oluvuganya government lutandise ku nteekateeka y’okukungaanya ebirowoozo okuva mu babaka booludda oluvuganya government, kwebyo byebandyagadde biteekebweko essira mu mbalirira yeggwanga eyomwaka ogujja 2023/2024. Embalirira eno...