Omuyizi abadde mu mwaka ogw’okusatu atiddwa mu kwekalakaasa okumaamidde ekibuga kya Kenya Nairobi, ng’abantu bekalakaasa olw’ebbeeyi y’ebintu okulinnya, nga kigambibwa nti bakumiddwamu omuliro bannabyabufuzi ab’ekibiina kya Azimio.
Omuyizi abadde asomera ku Maseno university attiddwa mu kitundu kye Maseno mu Kisumu west.
Police etegezezza nti abasirikale ba police mukaaga balumiziddwa byansusso, n’abantu ba bulijjo abalala.
Aba Azimio party abakulembeddwamu Laila Odinga eyavuganya mu kalulu ka president akayise n’awangulwa William Ruto, bagamba nti okwekalakaasa kwa monday ntandikwa butandikwa kubanga n’obuwanguzi bwabwe babwetaaga.
Balangiridde nti bagenda kwekalakaasa buli lwa monday.
Wabula president William Ruto abalabudde bave mu kutabangula Kenya, n’okuteeka eggwanga kununkenke, bwebaba balina kyebaagala mwetegefu okuteesa naboku lw’obulungi bwa bannakenya.
Eby’e Kenya bibadde bigenda mu maaso nga ne South Africa bekalakaasa nabo olw’ebbeeyi y’ebintu.
Munnabyabufuzi Julius Malema agambye nti okwekalakaasa kugendereddwamu okuwaliriza government okusala amagezi ku bbeeyi y’ebintu eyekanamye, ate nga n’obwavu bweyongera bweyongezi.
Abekalakaasi 87 bakwatiddwa nebaggalirwa.
Ebyo nga biri bityo, abamu ku babaka bannauganda basabye government ya Uganda esale mangu amagezi ng’okwekalakaasa kuno tekunakosa byabusuuzi bya Uganda, naddala okuviirako okulinnya kw’amafuta.
Atima Jackson Lee Buti, omubaka wa Arua Central Division agamba nti singa governmet yakuno tebaako na kyekola ekyamangu okwekalakaasa kuno kwandiretera bbeeyi y’amafuta okuddamu okulinbya.
Christopher Komakech, omubaka wa Aruu County asabye omukulembeze wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni okutabaganya enjuuyi zonna.#