President w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu alabudde abantu abakozesa enteekateeka y’ekibiina eya Kunga, okweyagaliza ebifo by’obukulembeze, mu kifo ky’okwagazisa abantu ekibiina kyabwe.
Kyagulanyi abyogeredde Magere ku Mukolo banna Kalungu East kwebamukyaliddeko, era n’asaba bannakibiina kye NUP okugoba abo abali mukwetega nga banoonya ebifo, mu kifo ky’okukolera ekibiina.
Tusuubira Henry asomye alipoota y’abawagizi ba NUP e Kalungu agambye nti abamu ku bakulembeze bebaalonda mu bifo bya government ez’ebitundu bakyusa dda enkola,akadingidi bakuuta ka kibiina ekiri mu buyinza.
Ababaka b’e Kalungu okuli Hon Ssewungu Joseph ne Katabaazi babuulidde Kyagulanyi nti entalo nyingi eziri e Kalungu mu by’obufuzi, nti ng’ate ababalwanyisa sente bazigya mu Government.
Bisakiddwa: Balikuddembe Joseph