Akakiiko akakwasisa empisa mu balamuzi kejjeerezza Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo, omusango ogubadde gumuvunaanibwa ogw’okubba fayiro ya mulamuzi munne Dr. Esther Kisakye.
Fayiro eno mwemwali ensala y’omusango gw’ebyokulonda ogwali guloopeddwa Robert Kyagulanyi Ssentamu owa NUP.m ngawakanya obuwanguzi bwa munna NRM Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni mu kulonda kwa 2021.
Nga 18 March 2021 ku kkooti ensukkulumu e Kololo omulamuzi Dr. Esther Kisakye yalumiriza Ssaabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo, nti yali abbye fayiro ye omwali ensala eyali eyawukana ku y’abalamuzi banne 8, abaategeeza nti Yoweri Kagutq Museven yawangula mu bwesimbu.
Munnamateeka Male Mabiriizi yeyali aloopye ssaabalamuzi ku musango gw’okubuzaawo fayiro, wabula obujulizi obumuluma bubuze.#