Parliament esiimudde mu mateeka ga Uganda ezimu ku nnyingo z’amateeka, ezizze ziranngirirwa kkooti etaputa ssemateeka ne kkooti ensukulumu nti zimenya ssemateeka w’eggwanga.
Ekitongole Kya Police kyekisinze okukosebwa mu nnongosereza eziyisiddwa parliament mu tteeka erya Law revision Amendment bill 2022.
Ezimu ku nnyingo ezisiimuddwa mu mateeka g’eggwanga kuliko ennyingo 27A ey’etteeka lya Police, ebadde ewa police obuyinza okuyita omuntu gwetebereza okubaako omusango gwazizza okwenyonyolako mu ngeri y’okukola statement, nokubaako ebiwandiiko byawa Police
Mu mwaka 2019 mu musango eyaali president wa UPC Ambassador Olara Otunu gweyawawabira government ,abalamuzi ba Court etaputa ssemateeka 5 ,okwali eyali omumyuka wa ssabalamuzi ekiseera ekyo Alphonse Owinyi Dollo, Kenneth Kakuru Kati Omugenzi, Fred Egonda Ntende ,Cheborion Barishaki ne Ezekel Muhanguzi baasazaamu ennyingo eno.
Abalamuzi baakirambika nti SSI musango police okuyita omuntu okweyanjula ku police nagaana.
Abalamuzi baagamba nti police bweba ekakasa nti omuntu gweteberezebwa okuzza omusango kituufu yazza omusango era obujjulizi ebulina, emutwale mu kkooti emugguleko omusango gwemuvunaana, mu kifo kyokumuyita ku police okusooka okukola statement.
Ennyingo endala esiimuddwa mu mateeka ga Uganda yennyingo eyo 8 mu tteeka erifuga enkungaana erya Public Order Management Act 2013, nga nayo mu mwaka 2020 kkooti etaputa ssemateeka yagisazaamu nti yali ekontana ne ssemateeka.
Ennyingo eno yali awa police olukusa nti yeyokka erina okukkiriza olukungaana okubaawo.
Wabula abalamuzi okwali Omugenzi Kenneth Kakuru, Godfrey Kiryabwire , Elizabeth Musoke ne Choborion Barishaki mu mwaka 2020 baagisazaamu nti yali ekontana ne ssemateeka w’eggwanga, awa bannansi omwagaanya okukungaana.
Kinnajjukirwa nti etteeka lya Public Order Management Act 2013, government yalibaga oluvanyuma lwa kkooti yeemu mu mwaka 2005 okusazaamu ennyingo eya 32 mu tteeka lya Police erya Police Act, eryali liwa Police obuyinza okukkiriza oba okugaana enkungaana.
Omubaka Muhammed Muwanga Kivumbi yeyekubira omulanga eri kkooti, era kkooti kweyasinziira okusazaamu ennyingo ezo.
Asuman Basalirwa omubaka wa Bugiri nga yeyawoma omutwe mu bbago parliament kwesinzidde okusiimuula ennyingo zino mu mateeka g’eggwanga asanyukidde ekikoleddwa parliament, nagamba nti police ebadde yerimbika mu nnyingo ezo okunyigiriza abantu naddala bannabyabufuzi ku ludda oluwabula government.
Ennyingo endala eya 50 mu penal code ebadde egufuula omusango eri munnamawulire afulumya amawulire, agagambibwa nti gabulimba nayo yasiimuddwa mu mateeka ga Uganda.
Kinnajjukirwa mu musango gwa Andrew Mwenda ne Charles Onyango Obbo gwebaawawabira government, kkooti kweyasinziira nesazaamu ennyingo eno mu mwaka 2004.
Ennyingo zino okuva lwezaasazibwaamu kkooti ,zibadde tezisiimulwanga mu mateeka g’eggwanga, ekibadde kiwa omukisa Police okugateeka mu nkola.#