Minister w’ensonga ze Kalamoja Mary Gorreti Kitutu essaawa yonna asuubirwa okusimbibwa mu kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi e Kololo aggulweko emisango 2 egyobuli bwenguzi.
Ssaabawaabi wa government Jane Frances Abodo yalagidde minisita Kitutu aggulweko emisango egyo era nalagira Police okumuleeta mu kooti atandike okuwerennemba.
Minisita Kitutu yakwatibwa Police eya CID ku lunaku lw’okubiri olwa wiiki eno.
Ogumuleebukanya gwa kwezza mabaati agaali gaweereddwa office ya Sabaminisita eri abawejjere be Kalamojja, kyokka n’asalawo okugegabira n’aweerezaako ne ba minister abalala.
Ba minister 15 bebaakakola sitatimenti ku police ku nsonga y’amabaati gano, era nga nabamu baamaze dda okugazzaayo eri wofiisi ya ssaabaminister.
Abalala abaafuna ku mabaati kuliko omumyuka wa president Jesca Alupo, sipiika wa parliament Anita Among, minister w’ebyensimbi Kasaija, omubeezi ow’e Kalamoja Agnes Nanduttu n’abalala.#