Kkooti enkulu e Mpigi egobye omusango gw’ebyokulonda ogwaloopwa munnakibiina kya NUP Betty Sentamu mwabadde awakanyiza obuwanguzi bwa Munnakibiina kya NRM Sylivia Nayebare ng’omubaka omukyala owa District ye Gomba.
Omulamuzi wa kkooti enkulu Alex Ajiiji yagobye omusango guno, oluvannyuma lwokukizuula nti Sentamu tayina bujulizi ku mivuyo gyalumiriza nti Nayebare yajenyigiramu.
Sentamu abadde alumiriza Nayebare okukozesa amagye okutiisatiisa abalonzi, okugulirira abalonzi saako n’okubba akalulu.
Mu nnamula ye, omulamuzi Ajiiji anenyeza Sentamu olwobutasooka kufuna Certified DR forms okuva mu kakiiko kebyokulonda okuzikozesa ng’obujulizi, era bwatyo kwekugoba omusango guno namulagira okuliyirira Nayebare, ekitundu ky’ensimbi zayoononedde mu musango.
Kinnajjukirwa kkooti ejulirwamu yalagira omusango guno okuddamu okuwulirwa oluvannyuma lwokukizuula nti kkooti enkulu yagugoba awatali nsonga ya Ssimba.
Mu kalulu kano akakiiko kebyokulonda kaalangirira omubaka Sylivia Nayebare nti yeyawangula n’obululu 30, 253, ate munna NUP Betty Sentamu bwebaali ku mbiranye n’afuna obululu 22, 657 ku bululu 55,643 obwalonderwako.
Bisakiddwa: Mpagi Recoboam