Ebitongole by'eby'okwerinda mu Uganda biyiiriddwa ku nsalo ya Uganda eye Mpondwe mu district ye Kasese oluvanyuma lw'abayekera ba M23 okukola obulumbaganyi ku byalo bya Democratic Republic of Congo ebiriraanye Uganda....
President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, azzemu okweyama nti wakuyambako ekitundu kye Luweero kikulaakulanr nti kubanga kirimu ebyafaayo bingi eri government ya NRM. President Museveni agambye nti wakufuba...
Olukiiko lwa town ye Kayabwe mu district y'e Mpigi luyisizza ekiteeso okubbulamu Kato Lubwama oluguudo mu kitundu ekyo. Ekiteeso kino kireeteddwa Meeya w'ekibuga ky'e Kayabwe Kasule Zeedi, mu olukiiko olubadde...
Abamu ku baana babalwanyi mu district ye Nakaseke abaafiira mu lutalo lwekiyeekera olwaleeta government ya NRM mu buyinza, balombojjedde akulira oludda oluvuganya mu parliamnet Mathias Mpuuga Nsamba ennaku gyebayitamu, okuva...
Olusirika lw'ababaka bannakibiina kya NRM olumaze ennaku 9 nga luyindira e Kyankwanzi lukomekerezeddwa nga bayisizza ebiteeso 16, byonna bisimbye ku nsonga ya kukolera wamu ng'akabondo. Olukungaana olusembyeyo era gyebayisirizza ebiteeso...
President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni akikaatirizza nti Uganda siyakusazaamu etteeka erirwanyisa ebisiyiga, nga yesigama kukuzinira ku ntoli z'abagabi b'obuyambi. Alagidde ababaka b'akabondo ka NRM abakola program ezitali zimu mu...
Ensisinkano y'ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya government okukubaganya ebirowoozo ku nnoongosereza zebagala zikolebwe mu ssemateeka w'eggwanga n'amateeka agafuga ebyokulonda etandise ku woteeri ya Speke resort e Munyonyo. Ensisinkano eno, ewomeddwamu...