President wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni akikaatirizza nti Uganda siyakusazaamu etteeka erirwanyisa ebisiyiga, nga yesigama kukuzinira ku ntoli z’abagabi b’obuyambi.
Alagidde ababaka b’akabondo ka NRM abakola program ezitali zimu mu bitundu byabwe okukakasa nti zitambulira ku mulamwa gwa NRM ogw’okukyusa obulamu bw’abantu n’okutwala Uganda ku mutendera oguddako sso si kutuukiriza bigendererwa byabwe ng’abantu.
President Museveni agambye nti ababaka abamu basiinga kulowooza ku bibayamba okuddamu okwesiimbawo, ekibalemeseza okulondoola obulungi program za government ezigenderera okukulakulanya abantu.
Agambye nti government etaddewo entegeka nnyingi ezandigikulaakulanyizza awatali kwegayirira bagabi ba buyambi.
Abyogeredde ku ttendekero ly’abakulembeze erya National Leadership Institute e Kyankwazi, bwabadde asomesa ababaka ba NRM engeri y’okusitulamu embeera zabwe.
Mungeri yemu Gen Museveni agambye nti bakusawo enkola mwebanayita okukwasizaako ababaka ba NRM nga bali mukalulu okulaba nti tebakozesa ssente zabwe.
Agambye nti kizuuliddwa nti bangi bagudde ku mabanja n’abamu nebasingayo amaka, okufuna ensimbi zebewoola okuvugirira obululu bwabwe .
President Museven asabye n’abakulembeze bonna okubeera ekyokulabirako eri bebakulembera, n’okulaba nti ebiri mu manifesto ya NRM biteekebwa mu nkola .
Omwogezi w’aabondo ka babaka ba NRM Brandon Kintu agambye nti Ababaka bano bali Kyankwanzi okwekubamu toochi mu myaka 2 gyebamaze bukya okulonda kwa 2021 kukomekerezebwa,webanaaviirayo oluvannyuma lw’ennaku 10 nga baliko ebintu ebyenjawulo byebayisizza.
Mu lusirika luno oluli e Kyankwanzi bakamalayo ennaku 6.
Bisakiddwa: Lubega Mudashiru