Bannamateeka abakugu mu byokutaputa ssemateeka w’eggwanga balabudde ssabaminisita w’rggwanga Robinah Nabbanja okwewala okuyisa ebiragiro ebimenya ssemateeka w’eggwanga mu ntambuza ye eyemirimu gyabwe.
Basinzidde ku kiragiro Ssabaminisita Nabbanja kyeyayisizza eri ba RDC nti tebaddamu okukkiriza akulira oludda oluvuganya government Mathias Mpuuga Nsamba okuyingira mu malwaliro okumanya emirimu gyegitambulamu.
Akulira oludda oluvuganya government Mathias Mpuuga Nsamba yatandiika okutalaaga eggwanga okulondoola projects government zesaamu ensimbi z’omuwi w’omusolo mu bitundu by’eggwanga okuli amasomero ,amalwaliro ,obutale , enguudo nebirala
Bweyabadde mu ddwaliro e Kawolo mu district ye Buikwe,abasawo baayo baamusindidde ennaku nti bamaze emyezi esatu nga tebasasulwa musaala, era nebamutegeeza nti babadde bagenda kuteeka wansi ebikola era kyebaatuukirizza.
Wano Ssaabaminister Nabbanja naye weyasinzidde ku ddwaliro e Kawolo, naayisa ekiragiro eri ba RDC nti tebaddamu okukkiriza akulira oludda oluvuganya government Mathias Mpuuga Nsamba okuyingira amalwaliro.
“Nze leader of government business, maze okulagira tagenda kuddamu kugenda mumalwaliro, agendeyo ng’agenze kumujanjaba kuba twagala okumulaba nga mulamu, naye bino eby’okugendayo ng’agenze kutaataaganya, tajja kuddamu kukikola” – Ssaabaminister Nabbanja
Wabula oluvannyuma lw’abasawo okussa wansi ebikola, government yasobodde okubasasulako omusaala gwa mwezi gumu, n’ebasuubiza okubasasula ezisigadde ku nkomerero y’omwezi gwa June.

Wabula Mpuuga ng’akulira oludda oluvuganya government agambye nti taggya kugoberera biragiro bimenya ssemateeka w’eggwanga, era nti wakusigala ng’akola emirimu gye, egirambikiddwa mu ssemateeka w’eggwanga
Munnamateeka Peter Walubiri, naye agamba nti ebiragiro ebyayisiddwa Nabbanja bimenya ssemateeka w’eggwanga.
Phiona Nabasa Wall eyaliko president w’ekibiina ekitaba bannmaateeka mu ggwanga alabudde nti ebiragiro ebifanaana bwebityo, biswaaza eggwanga Uganda.

Ssemateeka w’eggwanga ennyingo eye 82A etteekawo Offiisi yakulira oludda oluvuganya government mu parliament, ng’egimu ku mirimu gyalina okukola kwekulondoola entambuza yemirimu mu government n’okulondoola ensaasaanya yensimbi z’omuwi w’omusolo nebirala.#