Ebitongole by’eby’okwerinda mu Uganda biyiiriddwa ku nsalo ya Uganda eye Mpondwe mu district ye Kasese oluvanyuma lw’abayekera ba M23 okukola obulumbaganyi ku byalo bya Democratic Republic of Congo ebiriraanye Uganda.
Abayeekera ba M23 kigambibwa nti bawambye abantu abasoba mu 60 ate abalala 70 nebaddukira ku ludda lwa Uganda gyebekukumye.
Omwogezi wa police mu Uganda Fred Enanga ategezezza nti ebitongole by’eby’okwerinda ebiri ku nsalo ye Mpondwe eyawula Uganda ne DR Congo biri bulindaala, okwanganga abayeekera bano singa basala ensalo nebesogga Uganda.