Ensisinkano y’ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya government okukubaganya ebirowoozo ku nnoongosereza zebagala zikolebwe mu ssemateeka w’eggwanga n’amateeka agafuga ebyokulonda etandise ku woteeri ya Speke resort e Munyonyo.
Ensisinkano eno, ewomeddwamu omutwe akulira oludda oluvuganya government Mathias Mpuuga Nsamba okutuukiriza byeyateeka mu nteekateeka ye nnamutaayika, gyeyalangirira nga yakalondebwa ku kifo kino nti gyeyali egenda okutambuliza obuvunaanyizibwa obwamukwasibwa.
Enteekateeka eno nnamutaayika, yagituuma “The legislative Agenda”.
Olukungaana luno lugguddwawo president wa NUP.Robert Kyagulanyi Ssentamu, alaze okunyolwa olw’obukulembeze obutambulira ku nfuga y’ekinnamagye, eyinza okuviirako ennongoosereza ennungi zebaleeta obutassibwa mu nkola.
Ensonga yokukungaanya ebirowoozo ku nnongosereza mu ssemateeka w’eggwanga n’amateeka agafuga ebyokulonda yeemu kweezo enkulu eziri mu nteekateeka eno
Ebibiina okuli FDC, NUP, Jeema ,DP, PPP, UPC n’ebirala byayitiddwa okweteba mu nsisinkano eno.
Joyce Bagala omwogezi woludda oluvuganya government mu Parliament agamba nti ensisinkano eno bweggwa, obukulembeze bwoludda oluvuganya bwakutalaaga eggwanga lyonna, okufuna ebirowoozo byabannansi ku nnongosereza zino ,nokubeebuzaako.
Bagala agambye nti basaazeewo okutandika ku nteekateeka eno mu budde.
Abogezi abenjawulo okuli bannamateeka Prof Fredrick Ssempeebwa ,Hon Dan Wandera Ogalo,Kalori Ssemogerere, Peter Walubiri , omussomesa ku ssettendekero Makerere Prof Mwambutsya Ndebesa nabalala,bayitiddwa okuwa ebirowoozo byabwe.
Ezimu ku nnongosereza ezitunuuliddwa,kuliko okuzzaayo obuyinza eri government ez’ebitundu ,okuggya amagye mu parliament ,akwata ekyokubiri mu kulonda kwobwapresident okufuuka omubaka owenjawulo mu parliament.
Bagala okuzaawo ekkomo ku bisanja bya president , okugyawo ebifo byaba RDC, okugya amagye mu kulonda ,okuteekateeka engeri obuyinza gyebukyukamu okuva ku mukulembeze weggwanga omu okudda ku mulala, okukendeeza ku bisalibwawo president, ebibiina byobufuzi byonna okubeera neba member ku kakiiko kebyokulonda nensonga endala nnyingi.
Mu ngeri yeemu ababaka ba parliment ab’ekibiina kya NRM ekiri mu buyinza bakyali ku lusirika lwabwe olw’ennaku 10 e Kyankwanzi.#