Olukiiko lwa town ye Kayabwe mu district y’e Mpigi luyisizza ekiteeso okubbulamu Kato Lubwama oluguudo mu kitundu ekyo.
Ekiteeso kino kireeteddwa Meeya w’ekibuga ky’e Kayabwe Kasule Zeedi, mu olukiiko olubadde olw’ebbugumu olwayitiddwa okuyisa embalirira y’ebyensimbi ey’omwaka 2023/24.
Kansala akiikirira ekibuga ky’e Kayabwe ku lukiiko lwa district ye Mpigi Alex Andrew Mwanje agambye nti kino kirungi okubbula mu Kato Lubwama oluguudo, nti kubanga alina abantu bangi abayise mu mikono gye nebafuuka eb’ensonga mu ggwanga.
Munnakatemba era munnabyabufuzi Kato Lubwama agenda kuziikibwa nga 14 June,2023 mu bitundu bye Nkozi mu Kayabwe.
Oluvannyuma lw’okuyisa ekiteeso, avunaanyizibwa ku by’ensimbi ku kakiiko ka town ye Kayabwe Siraje Kaweesa ayanjudde embalirira y’ebyensimbi ey’omwaka 2023/24 nga yabukadde bwa shs 170 n’okusoba era neyiisibwa.
Bisakiddwa: Yoweri Musisi