President wa Uganda Gen Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, azzemu okweyama nti wakuyambako ekitundu kye Luweero kikulaakulanr nti kubanga kirimu ebyafaayo bingi eri government ya NRM.
President Museveni agambye nti wakufuba okulaba ng’ekitundu kino kifuna amakubo, amasomero n’amalwaliro ebyeyagaza.
Museven agambye bannaluweero baawaayo bintu bongi okuleeta government ye mu buyinza.
Museveni bino abiyisizza mu bubaka obumusomeddwa ssabaminisita wa Uganda, Robina Musaafiri Nabbanja, ku mikolo gy’okujjukira abazira b,eggwanga ejibadde e Luweero.
Museven agambye nti wadde nga bannaluweero bakyalina byebabanja, nti naye n’ebikoleddwa bingi mu kitundu, era kikyuse nnyo.
Minister avunanyizibwa ku byenguudo, Gen Katumba Wamala, asinzidde ku mikolo jino naakakasa nti baliko enguudo mu district ye Luwero zebatandise okukola nendala ezigenda okukubwa koolansi.
Gen Katumba Wamala agambye nti bakyasoomozebwa olw!abantu abamu ababba ebyuma ebikola enguudo, naasaba abavubuka mu district ye Luweero okwekwata ku pulojekiti ezimu bafune emirimu.
Agambye nti gavumenti yasazeewo okuwa districts, municpaali neebibuga ebyakakasiddwa akawumbi kalamba buli mwaka okukola enguudo n’asaba ababaka ba parliament nabakulembeze mu government ez’ebitundu okulondoola ensimbi zino obutabbibwa.
Alice Kaboyo, minister wensonga zaakanyigo ke Luweero agambye nti ensimbi eziweebwa ministry eno zikyali ntono, nga kyetaagisa okwongerwako okutumbula enkulakulana naddala mu bendobendo lye Luweero.
Akulira abazirwanako Hajji Ediriisa Ssendugga, asinzidde ku mikolo gino naagamba nti basoomozebwa olwabasawo beekinnansi abegumbulidde okubba obuwanga bwabantu abaziikibwa mu bijjukizo ebyenjawulo.
Ku mukolo guno, abazira 51 bebakwasiddwa emidaali egyokubasiima obuzira nokuweereza eggwanga lyabwe mu mitendera egyenjawulo.
Mu ngeri yeemu Ssaabaminister atongozza omulimu gw’okukola oluguudo lwa Luweero-Butalangu oluwezaako obuwanvu bwa kilometre 29.74.
Bisakiddwa Ddungu Davis