Abamu ku baana babalwanyi mu district ye Nakaseke abaafiira mu lutalo lwekiyeekera olwaleeta government ya NRM mu buyinza, balombojjedde akulira oludda oluvuganya mu parliamnet Mathias Mpuuga Nsamba ennaku gyebayitamu, okuva abantu babwe lwebattibwa mu myaka gye 80.
Abaana bano Faith Katende ne Najjuma Robinah bagamba nti bakadde babwe baafa nga bazira nga balwanirira emirembe okubukala mu ggwanga lino.
Akulira oludda oluvuganya government Mathias Mpuuga Nsamba abadde alambula district y’e Nakaseke okulondoola emirimu government gyesaasaanyaako ensimbi omubadde amassomero, amalwaliro, enguudo n’ebirala.
Atuseeko ku ntaana bwaguuga esangibwa e Kikamulo ku Gombolola omwaziikibwa abantu abafiira mu lutalo lwekiyeekera , era wano wasisinkanidde abaana ba Stanley Ssebbunza gwebagambye nti yattibwa mu lutalo lwekiyeekera mu nzita ey’entiisa.
Akulira oludda oluvuganya gavument asabye abantu bano okukozesa obulumi nennyiike gyebalina, balwanirire kyayise okununula eggwanga lino okuva mu government ya NRM.
Mathias Mpuuga Nsamba azeemu okusaasira abantu be Luweero abafiirwa abantu babwe mu lutalo lwagambye nti abaawamba obuyinza berabira dda ebyabatwala mu nsiko, nti nga nébikolwa ebyabatwalayo byaddamu dda mu ggwanga, omuli okuwamba abantu, enguzi, ettemu nébirala.
Mpuuga ng’ali n’ababaka b’ekitundu alambuddeko ku mpuku omwaziikibwa obuwangwa bw’abafiira mu lutalo.
Bino webijjidde ng’eggwanga lyetegekera okukuza olunaku lw’abazira ba Uganda, olukuzibwa buli nga 09 June.#