Bassentebe bebyalo mu ggombolola ye Bussi mu district ye Wakiso batabukidde government olw'okubakandaaliriza okubasasula ensimbi zabwe ezakasiimo akemitwalo 120,00/= ezibaweebwa buli mwaka , bagamba nti omwaka gwebyensimbi gwaweddeko naye ensimbi...
Government eyongezaayo okulondebwa kw'obukiiko bwa LC zo ku byalo n'emiruka oluvannyuma lw'okubulwa ssente ezitegeka okulonda kuno. Ekisanja ky'abakulembeze bo ku byalo kibadde kigwako olwaleero nga 03 July,2024, lwenkya oluvanyuma lwa...
President wa Kenya William Ruto ayimirizza eby'okussa omukono ku tteeka eribadde lifuuse nattabula, era nga libaddemu emisolo emiggya egireetebwa. Etteeka lino alizizzaayo eri parliament liddemu lyekenneenyezebwe. President Ruto okusalawo bwati,...
Eyaliko akulira oludda oluvuganya government mu Parliament Omubaka wa Nyendo - Mukungwe, era Commissioner wa Parliament munna NUP Mathias Mpuuga Nsamba ategese okusaba okwenjawulo okwokwebaza Katonda olw'obuweereza bwatuseeko ku mitendera...
Ba kansala abakunukkiriza mu 20 abakiika ku lukiiko lwa Kampala, bebagambibwa okuba nga baasuulawo emirimu gyabwe nebagenda mu mawanga amalala okukuba ekyeyo, wadde ng'ekisanja kyabwe kyali tekinagwako. Embeera eno egulumbya...
Ekitongole kya police ekinoonyereza ku buzzi bw'emisango ki CID kyayise abamu ku babaka ba parliament n'abakungu ba government abatali bamu kitebe kyayo e Kibuli okwenyonyolako ku bigambibwa nti benyigira...