Government eyongezaayo okulondebwa kw’obukiiko bwa LC zo ku byalo n’emiruka oluvannyuma lw’okubulwa ssente ezitegeka okulonda kuno.
Ekisanja ky’abakulembeze bo ku byalo kibadde kigwako olwaleero nga 03 July,2024, lwenkya oluvanyuma lwa Minister avunanyizibwa ku government ez’ebitundu, Rapheal Magyezi okukyongezaayo okumala emyezi mukaaga ku ntandikwa yo mwaka guno 2024.
Mu kiwandiiko ekyafulumiziddwa mu katabo k’amawulire aka government aka Uganda Gazette, yalaze nti ekisanja kya ba LC kigenda nate kwongezebwayo okumala ennaku 180 okutandika ne ku Thursday nga 04 July,2024.
Guno si gwemulundi ogusoose nga government eyongezaayo ebisanja by’obukiiko bwa LC olwokubulwa ssente ezokutegeeka okulondebwa kwabwo.
Minister avunanyizibwa ku government ez’ebitundu, Rapheal Magyezi ategezzezza CBS nti government ekyalemeddwa okufuna ssente zokutegeeka okulonda kwa LC.
Mu July wo mwaka ogwayita 2023, Minister Rapheal Magyezi yayanjulira parliament etteeka government mweyayitira okwongezaayo ebisanja by’obukiiko bwa LC, oluvanyuma lw’ababaka abali ku ludda oluvuganya government nga abakulembeddwamu Omubaka wa parliament omukyala owe Wakiso, Ethel Naluyima okwemulugunya ku tteeka obukiiko buno mwebwali bukolera.
Bisakiddwa: Nakato Janefer