Commissioner wa parliament era omubaka wa Nyendo Mukungwe owek Mathias Mpuuga Nsamba attukiza buto okuteekateeka ennongosereza ezirina okukolebwa mu ssemateeka w’eggwanga n’amateeka agafuga ebyokulonda, Uganda bweba yakufuna mu kalulu ka 2026.
Owek Mathias Mpuuga bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku parliament, agambye nti kigenda kubeera kyabulabe eggwanga okugenda mu kalulu k’omwaka 2026, nga tewali kikoleddwa okutereeza amateeka agafuga ebyokulonda ne ssemateeka w’eggwanga.
Agambye nti ssemateeka yafuuka kiwowongole, ekinyusi kya ssemateeka gyagwaamu dda okuli ekkomo ku bisanja nekkomo ku myaka gya president ebyasiimulwamu.
Owek Mathias Mpuuga Nsamba agambye nti akoze okwebuuza okumala ku bantu abakwatibwako ensonga zino, era mu kiseera ekituufu bakutuula n’abantu abalina endowooza ku bwetaavu bw’okukola ennongosereza ezetaagisa, bakaanye era basalewo okuzaanjula mu parliament.
Agambye nti ssemateeka wa Uganda eyakolebwa mu 1995 atagaanjuddwa ekimala, kati ye ssaawa atereezebwe.
Ebimu ku birina okulowoozebwako, kwekukendeeza ku muwendo gw’ababaka ba parliament, okutondawo ebiwayi bya parliament 2, okuzzaawo ekkomo ku bisanja bya president, bannamaggye okugyibwa mu parliament n’ebirala ebinaaba bikkaanyiziddwako bannauganda.#