Akakiiko k’eggwanga ak’ebyokulonda kakoze enkyukakyuka mu nteekateeka gyekaali kafulumizza, ey’akalulu k’omwaka 2026.
Mu August 2023, akakiiko k’ebyokulonda mwekaalangirira enteekateeka eno emanyiddwanga Road map enatambulirako okulonda kwomwaka 2026.
Okuteekateeka akalulu kano akomwaka 2026, akakiiko kebyokulonda kaategeeza nti kakusaasaanya ensimbi trillion 1 nobuwumbi 300 okuva ku buwumbi 868 ezaasaasaanyizibwa mu kalulu komwaka 2021.
Ensimbi zino government yali yakuziwa akakiiko kano okutandiika nomwaka gwebyensimbi 2022/2023, 2023/2024, 2024,2025 ne 2025/2026 okweteekateeka obulungi.
Mu June w’omwaka guno 2024, akakiiko kebyokulonda kaalina okutandika okulamba ebifo byokulumbeze ebimanyiddwanga electoral areas nenteekateeka endala, wabula tebyaakoleddwa olw’obutaba na nsimbi.
Ebbula lyensimbi lino, liwalirizza akakiiko kebyokulonda okugatta ezimu ku nteekateeka ezaalina okukolebwa mu kiseera kino wabula nezitakolebwa, nga zino zigenda kukolebwa mu kiseera kyekimu neezo endala ezibadde ezokukolebwa mu kiseera ekiggya, nekigendererwa ekyokukwaata obudde.
Mu January womwaka 2025, akakiiko kebyokulonda kaali kateekateeka okuzza obuggya enkalala zabalonzi, songa okuwandiisa n’okusunsula abaneesimbawo kubukulembeze bw’egwanga kwali kwakukolebwa ng’ennaku z’omwezi 2 ne 3 omwezi ogwa October, 2025.
Okusinziira ku raod map eyafulumizibwa, okulonda kwali kwakubeerawo okuva ngennaku zomwezi 12 omwezi ogwa January okutuuka ng’ennaku z’omwezi 9 February, 2026.
Ensonda mu kakiiko kebyokulonda zibuulidde CBS, nti enkyuukakyuuka zonna ezikoleddwa mu raod map yakakulu komwaka 2026, ssentebe w’akakiiko agenda kuzirangirira eri eggwanga mu nnaku ntono ezijja.#