Bassentebe bebyalo mu ggombolola ye Bussi mu district ye Wakiso batabukidde government olw’okubakandaaliriza okubasasula ensimbi zabwe ezakasiimo akemitwalo 120,00/= ezibaweebwa buli mwaka , bagamba nti omwaka gwebyensimbi gwaweddeko naye ensimbi zabwe tebaazifunye.
Bassentebe banno basinzidde mu lukiiko ku kitebe ky’e gombolola Bussi, olwayituddwa ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika, nebamusaba okutegeeza bekikwatako okukola ku nsonga eno bunnambiro.
Wabula ba ssentebe tebali bokka, nebakansala ku lukiiko lwa district ye Wakiso nga bakulembeddwamu Kansala akiikirira eggombolola ye Bussi Sulaiman Ssenkubuge bagambye nti nabo bamaze ebbanga erisoba mu myezi essatu nga tebalaba kunsako yabwe.
Ye ssentebe weggombolola eno Mukalazi Charles Ssenkaddwa agamba nti mukadde kano government yandibadde erowooza ku nsonga yakwongeza bassentebe b’ebyalo ku nsimbi ezibasasulwa basobole okulondoola emirimu gya government okuviira ddala wansi ku byalo.
Wabula ssentebe wa district ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika abagumizza nti ensonga yabwe agenda kugirondoola, bamanye eby’okubasasula webituuse.
Era abasabye okutambulira awamu okulaba nga balwanyisa banakigwanyizi abamaliridde okusengula abantu ku ttaka lyabwe, nga bwebazeenga bakola okugobaganya abantu ku nnyanja.
Bisakiddwa: Tonny Ngabo